Lwakubiri, Jjulaayi 15
Lundanga endiga zange.—Yok. 21:16.
Omutume Peetero yakubiriza bakadde banne nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda.” (1 Peet. 5:1-4) Bw’oba ng’oli mukadde, tuli bakakafu nti oyagala nnyo bakkiriza banno era oyagala okubazzaamu amaanyi. Kyokka oluusi oyinza okuwulira nti olina eby’okukola bingi oba nti oli mukoowu nnyo nti tosobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo. Mu mbeera ng’eyo, kiki ky’oyinza okukola? Saba Yakuwa era omutegeeze ekyo ekikuli ku mutima. Peetero yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aweereza, aweereze nga yeesigama ku maanyi Katonda g’agaba.” (1 Peet. 4:11) Bakkiriza banno bayinza okuba nga boolekagana n’ebizibu ebiyinza okuba nga tebiyinza kugonjoolwa mu bujjuvu mu nteekateeka y’ebintu eno. Naye kijjukire nti “omusumba omukulu,” Yesu Kristo, asobola okubayamba okusinga omuntu omulala yenna. Asobola okubayamba mu kiseera kino era ajja kubayamba ne mu nsi empya. Katonda ky’ayagala abakadde bakole kwe kulaga bakkiriza bannaabwe okwagala, okubazzaamu amaanyi, n’okuba ‘ebyokulabirako eri ekisibo.’ w23.09 29-30 ¶13-14
Lwakusatu, Jjulaayi 16
Yakuwa akimanyi nti abantu abagezi bye balowooza tebiriimu nsa.—1 Kol. 3:20.
Tusaanidde okwewala okukolera ku ndowooza z’abantu. Bwe tutandika okulowooza ng’abantu abatagoberera mitindo gya Yakuwa, naffe tuyinza okulekera awo okugigoberera. (1 Kol. 3:19) “Amagezi g’ensi eno” emirundi mingi galeetera abantu okujeemera Katonda. Abamu ku Bakristaayo mu Perugamo ne Suwatira baatwalirizibwa endowooza z’abantu abaali mu bibuga ebyo abaali basinza ebifaananyi era abaali abagwenyufu. Yesu yanenya nnyo Abakristaayo mu bibiina ebyo olw’okugumiikiriza abo abaali beenyigira mu bikolwa ebyo. (Kub. 2:14, 20) Leero abantu abatwetoolodde bayinza okugezaako okutuleetera okutwalirizibwa endowooza enkyamu. Ab’eŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe bayinza okugezaako okutukakasa nti ekibiina kyaffe kikugira nnyo, era nti si kikyamu okumenya amateeka ga Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bayinza okutugamba nti si kikyamu okukolera ku kwegomba kwaffe, era nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gyava dda ku mulembe. Ate oluusi tuyinza okulowooza nti obulagirizi Yakuwa bw’atuwa tebumala. Tuyinza n’okugezaako ‘okusukka ku bintu ebyawandiikibwa.’—1 Kol. 4:6. w23.07 16 ¶10-11
Lwakuna, Jjulaayi 17
Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.—Nge. 17:17.
Maliyamu maama wa Yesu yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Maliyamu teyali mufumbo, kyokka yali agenda kuba lubuto. Wadde nga teyalina bumanyirivu mu kukuza baana, yali agenda kukuza omwana eyali agenda okuba Masiya. Yali teyeegattangako na musajja yenna, kyokka yalina okugamba Yusufu, eyali amwogereza, nti ali lubuto. Kya lwatu ekyo tekyali kyangu. (Luk. 1:26-33) Maliyamu yafuna atya amaanyi? Yanoonya obuyambi okuva eri abalala. Ng’ekyokulabirako, yasaba Gabulyeri amubuulire ebisingawo ku buvunaanyizibwa obwo obwamuweebwa. (Luk. 1:34) Ate oluvannyuma lw’ekiseera kitono, yagenda “mu kitundu eky’ensozi” ekya Yuda okukyalira Erizabeesi gwe yalinako oluganda. Erizabeesi yayogera bulungi ku Maliyamu, era Yakuwa yamuluŋŋamya okwogera obunnabbi obuzzaamu amaanyi obwali bukwata ku mwana Maliyamu gwe yali agenda okuzaala. (Luk. 1:39-45) N’ekyavaamu, Maliyamu yagamba nti Yakuwa yali “akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.” (Luk. 1:46-51) Yakuwa yazzaamu Maliyamu amaanyi okuyitira mu Gabulyeri ne Erizabeesi. w23.10 14-15 ¶10-12